Posts

Showing posts from March, 2015

Nkubira Engalo

Nze mwana,  gwe,  gwolinyako Atunda kalonda yena Nze alondalonda ebyuma ku kkubo-  nembitunda Nga nsubbira olunaku lulikya nokiraba Mbu nange ngezezako Naye notakikola Nze mukazi atoba n'abaana kumi na babiri Omuddu,  omukomba bokisi Era nga nze mukazi awaka Nga nindirira ongambe mbu nawe,  okiraba sibyangu Oba nti otegeera okwewayo kwange Naye notakilola Nze musajja akeera mu mambya Nenkomawo mu matumbi g'ekiro Nga nfuba nyo okulabirira gwe n'abaana bo Okukakana Nga ogenze nga simanyi na kyenteganira Nga nsubira osanga onategeera obulumi bwange Naye notakilola Kati ngenda kuva wano Ngende eyo gyebatammanyi Nziruke embiro paka lwendisanga ewaka Awaka wenin'okubeera Obulumi bwange gyebuligabanibwa Eyo ebimuli gyebiyimbira Abawala gyebazanyira mu nkuba Kati ngenda kuva wano Ngende eyo gyebatammanyi Ekifo gyebanankubira engalo It's not because I think I'm better than you- no Not because I think that I deserve more Oh no It's just